Galatians 3:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye kati okukkiriza nga kumaze okutuuka, tetukyafugibwa mukuumi,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye okukkiriza bwe kwajja, ng’olwo tetukyetaaga mateeka kutukuuma.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye kaakano ng'okukkiriza nga kumaze okujja, tetukyali wansi wa mukuumi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye kaakano okukkiriza nga bwe kwajja, tetukyafugibwa mukuumi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye okukkiriza bwe kumaze okujja, tetukyali mu bufuge bwa mutwazi.