Galatians 3:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tewakyali ono Muyudaaya, ono Mugereeki; tewakyali ono muddu, ono mwana wa ddembe; tewakyali ono musajja, ono mukazi; anti mmwe mwenna muli muntu omu mu Kristu Yezu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tewakyali kusosola wakati wa Muyudaaya na Muyonaani, wakati wa muddu na wa ddembe, wakati wa musajja na mukazi, kubanga mwenna muli omu mu Kristo Yesu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tewali Muyudaaya, newakubadde Omuyonaani, tewali muddu newakubadde ow'eddembe, tewali musajja na mukazi: kubanga mmwe mwenna muli omu mu Kristo Yesu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tewakyali njawulo wakati w'Omuyudaaya n'ow'eggwanga eddala, wakati w'omuddu n'ow'eddembe, wakati w'omusajja n'omukazi. Mwenna muli omu mu Kristo Yesu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tewali Muyudaaya, newakubadde Omuyonaani, tewali muddu newakubadde ow'eddembe, tewali musajja na mukazi: kubanga mmwe mwenna muli omu mu Kristo Yesu.