Galatians 3:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eyabawa Mwoyo we era akola n'ebyewuunyo mu mmwe akozesa bikolwa bya mu Tteeka, oba kubanga mwawulira n'okukkiriza?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abawa Omwoyo n’abawa n’okukola eby’amaanyi mu mmwe, akola lwa bikolwa by’amateeka oba lwa kuwulira olw’okukkiriza?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abawa Omwoyo, akola eby'amaanyi mu mmwe, akola lwa bikolwa bya mateeka nantiki lwa kuwulira kwa kukkiriza?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda abawa Mwoyo we, era akola ebyamagero mu mmwe, lwa kubanga mutuukiriza ebyo Amateeka bye galagira, oba lwa kubanga mwawulira ne mukkiriza Amawulire Amalungi?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abawa Omwoyo, akola eby'amaanyi mu mmwe, akola lwa bikolwa bya mateeka nantiki lwa kuwulira kwa ku kkiriza?