Galatians 3:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekiwandiiko ekitukuvu bwe kyalengera nga Katonda amawanga aligafuula matuukirivu lwa kukkiriza, ne kibuulirirawo Yiburayimu amawulire ag'essanyu nti: “Mu ggwe amawanga gonna galiweebwa omukisa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olw’okuba nga baategeera ebiribaawo n’ekyawandiikibwa, ng’olw’okukkiriza, Katonda aliwa amawanga obutuukirivu, Enjiri kyeyava ebuulirwa Ibulayimu edda nti, “Mu ggwe amawanga gonna mwe galiweerwa omukisa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ekyawandiikibwa, kyalaba edda nti Katonda aliwa Ab'amawanga obutuukirivu lwa kukkiriza, Enjiri neesooka okubuulirwa Ibulayimu nti, “Mu ggwe amawanga gonna mmwe galiweerwa omukisa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olw'okulengera ebiri mu maaso nti Katonda aliwa ab'amawanga amalala obutuukirivu olw'okukkiriza kwabwe, ekyawandiikibwa kyekyava kitegeeza edda Aburahamu Amawulire Amalungi nti: “Mu ggwe amawanga gonna mwe galiweerwa omukisa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ekyawandiikibwa bwe kyalaba edda Katonda bw'aliwa amawanga obutuukirivu olw’okukkiriza, ne kibuulira olubereberye Ibulayimu enjiri nti Mu ggwe amawanga gonna mmwe galiweerwa omukisa.