Galatians 4:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Newandibadde embeera gye nalimu yabasobeza, kyokka temwannyooma wadde okunneekanasa; naye mwannyaniriza nga malayika wa Katonda, nga Kristu Yezu yennyini.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye newaakubadde nga mwandinnyomye olw’obulwadde bwange, temwangobaganya, wabula mwansembeza nga malayika wa Katonda, nga Yesu Kristo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye newakubadde nga nnabazitowerera olw'obulwadde bwange, temwannyooma oba okunsekerera, naye mwanzikiriza nga malayika wa Katonda, nga Kristo Yesu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era newaakubadde nga nabakaluubirira olw'obulwadde bwange, naye temwannyooma, wadde okunneekanasa, wabula mwannyaniriza nga bwe mwandyanirizza malayika wa Katonda, nga bwe mwandyanirizza Kristo Yesu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era okukemebwa kwammwe okw'omu mubiri gwange temwakunyooma so temwakulondoola, naye mwanzikiriza nga malayika owa Katonda, nga Kristo Yesu.