Galatians 4:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okunsanyukira okwo kwonna kuzze wa? Sibalimbamu, olwo singa kyali kisoboka, n'amaaso gammwe mwandigatunguddemu ne mugampa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale essanyu lyammwe lyadda wa? Kubanga ndi mujulirwa wammwe nti, mwali musobola okuggyamu amaaso gammwe ne mugampa okunnyamba singa kyali kyetaagisa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale okumatira okwo kwe mwafuna kwadda wa? Kubanga ndi mujulirwa wammwe nti, singa kyali kyetaagisa, mwandiggyeemu amaaso gammwe ne mugawa nze.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale essanyu lyammwe eryo lyadda wa? Nze kennyini nnyinza n'okuboogerako nti singa kyali kiyinzika, mwandiggyeemu amaaso gammwe ne mugampa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale okwetenda kwammwe kuli luuyi wa? kubanga ndi mujulirwa wammwe nti, singa kyali kiyinzika, mwandiggyeemu amaaso gammwe ne mugawa nze.