Galatians 4:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abakuza n'abalabirira ebintu bye be bamufuga okutuusa ebbanga kitaawe lye yamuteeseza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Afugibwa abasigire n’abawanika okutuusa lw’akula n’atuuka ku kigero kitaawe, kye yategeka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye afugibwa abakuza n'abasigire okutuusa ekiseera kitaawe kye yalagira nga kituuse.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Aba mu mikono gya bakuza be, okutuusa ekiseera kitaawe kye yalagira lwe kiggwaako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye afugibwa abasigire n'abawanika okutuusa entuuko kitaawe ze yalagira edda.