Galatians 4:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekyo nno kifaayo kya makulu: Abakazi abo ababiri ze ndagaano ebbiri: emu esibuka ku lusozi Sinayi, y'ezaala abaana b'obuddu; ye Agari.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebyo biri nga bya lugero; kubanga ezo ndagaano bbiri. Emu yava ku Lusozi Sinaayi, ye yazaala abaana ab’obuddu, ye yava mu Agali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebyo bya lugero: kubanga abakazi abo ze ndagaano bbiri; emu eva ku lusozi Sinaayi, ye yazaala abaana ab'obuddu, eyo ye Agali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyo biri nga lugero: abakazi abo ababiri z'Endagaano bbiri. Emu yakolerwa ku lusozi Sinaayi, ye azaala abaana ab'omuddu. Endagaano eyo ye Hagari.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebyo bya lugero: kubanga abakazi abo ze ndagaano bbiri; emu eva ku lusozi Sinaayi, ezaala olw'obuddu, eyo ye Agali.