Galatians 4:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kati nno Agari lwe lusozi Sinayi mu Arabiya; luli nga Yeruzaalemu ow'omu budde buno kubanga ali mu buddu n'abaana be.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Agali lwe Lusozi Sinaayi oluli mu Buwalabu, era afaananyirizibwa ne Yerusaalemi eya kaakano kubanga ye ne bazzukulu be bali mu buddu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Agali oyo lwe lusozi Sinaayi, oluli mu Buwalabu, era yenkanankana ne Yerusaalemi ekya kaakano: kubanga muddu wamu n'abaana be.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Hagari oyo lwe Lusozi Sinaayi, oluli mu Buwarabu; afaanaanyirizibwa ne Yerusaalemu ekiriwo kaakano, kubanga kyo n'abantu baakyo bali mu buddu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Agali oyo lwe lusozi Sinaayi, oluli mu Buwalabu, era yenkanankana ne Yerusaalemi ekya kaakano: kubanga muddu wamu n'abaana be.