Galatians 4:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti kyawandiikibwa nti: “Sanyuka ggwe omugumba atazaalangako; yamira, leekaana, ggwe atazaalangako; kubanga abaana b'oyo eyayabulirwa bangi okusinga ab'oyo aliko bba.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga kyawandiikibwa nti, “Sanyuka ggwe omugumba atazaala. Leekaanira waggulu mu ddoboozi ery’omwanguka newaakubadde nga tozaalanga ku mwana. Kubanga ndikuwa abaana bangi, abaana abangi okusinga omukazi alina omusajja b’alina.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga kyawandiikibwa nti, “Sanyuka, omugumba atazaala; Yanguwa oyogerere waggulu, ggwe atali mu bulumi bwa kuzaala, Kubanga abaana b'oyo eyalekebwayo bangi okusinga ab'oyo alina omusajja.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyawandiikibwa nti: “Sanyuka ggwe omugumba atazaala: leekaana nnyo ggwe atalumwanga kuzaala, kubanga omukazi eyalekebwawo, alina abaana bangi okusinga oyo ali ne bba.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga kyawandiikibwa nti Sanyuka, omugumba atazaala; Baguka okwogerera waggulu, atalumwa: Kubanga abaana b'oyo eyalekebwayo bangi okusinga ab'oyo alina omusajja: