Galatians 4:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nga luli, oli eyazaalibwa mu butonde kyokka bwe yayigganya eyazaalibwa mu Mwoyo, na kaakano bwe guli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye mu biro biri ng’eyazaalibwa omubiri bwe yayigganya oyo eyazaalibwa Omwoyo, ne kaakano bwe kiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye nga mu biro biri eyazaalibwa olw'omubiri nga bwe yayigganya eyazaalibwa olw'Omwoyo, bwe kityo bwe kiri ne kaakano.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era okufaanana nga bwe kyali mu kiseera kiri, oyo eyazaalibwa mu ngeri eyaabulijjo, bwe yayigganya eyazaalibwa olwa Mwoyo wa Katonda, ne kaakano bwe kiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye nga mu biro biri eyazaalibwa olw'omubiri nga bwe yayigganya eyazaalibwa olw'Omwoyo, bwe kityo ne kaakano.