Galatians 4:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naffe bwe tuli. Bwe twali tukyali bato, twali baddu b'amaanyi g'ebintu ensi mwe yakolebwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era naffe bwe tutyo bwe twali tukyali bato, twafugibwanga obulombolombo obw’ensi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe tutyo naffe, bwe twali tukyali bato, twali baddu nga tufugibwa emyoyo egy'omu nsi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe tutyo naffe, bwe twali tukyali bato mu by'omwoyo, twali baddu abafugibwa emisambwa egy'oku nsi kuno.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe tutyo naffe, bwe twabanga abato, twabanga baddu nga tufugibwa eby'olubereberye eby'omu nsi: