Galatians 4:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kazzi ebiwandiiko bigamba bitya? “Goba omuzaana ne mutabani we; kubanga omwana w'omuzaana taliba musika wamu na mwana wa ddembe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Ebyawandiikibwa bigamba bitya? Bigamba nti, “Goba omukazi omuddu n’omwana we, kubanga omwana w’omukazi omuddu talisikira wamu n’omwana w’omukazi ow’eddembe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ebyawandiikibwa byogera bitya? nti, “Goba omuzaana n'omwana we: kubanga omwana w'omuzaana talisikira wamu n'omwana w'ow'eddembe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ekyawandiikibwa kigamba kitya? Kigamba nti: “Goba omuzaana n'omwana we, kubanga omwana w'omuzaana talisikira wamu n'ow'ow'eddembe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ebyawandiikibwa byogera bitya? nti Goba omuzaana n'omwana we: kubanga omwana w’omuzaana talisikira wamu n'omwana w'ow'eddembe.