Galatians 4:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo nno, abooluganda, tetuli baana ba mukazi muzaana, naye b'oli ow'eddembe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo abooluganda tetuli baana ba mukazi omuddu naye tuli baana ab’omukazi ow’eddembe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale, ab'oluganda, ffe tetuli ba muzaana, naye tuli baana ab'omukazi ow'eddembe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale, abooluganda, ffe tetuli baana ba muzaana, wabula ba wa ddembe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale, ab'oluganda, ffe tetuli ba muzaana, naye ba wa ddembe.