Galatians 4:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga nno muli baana, Katonda kyeyava asindika Mwoyo w'Omwana we mu mitima gyaffe, akoowoola nti: “Abba, Taata.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era kubanga tuli baana, Katonda yatuma Omwoyo w’Omwana we okubeera mu mitima gyaffe, era kaakano tuyinza okwogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “ Aba, Kitaffe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era kubanga muli baana, Katonda yatuma Omwoyo gw'Omwana we mu mitima gyaffe, ng'akaaba nti “Aba, Kitaffe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era olw'okuba abaana ba Katonda, Katonda kyeyava atuma Mwoyo w'Omwana we, mu mitima gyaffe. Mwoyo oyo akoowoola nti: “Aba”, ekitegeeza nti “Kitaffe”!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era kubanga muli baana, Katonda yatuma Omwoyo gw'Omwana we mu mitima gyaffe; ng'akaaba nti Aba, Kitaffe.