Galatians 4:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno, mumaze okumanya Katonda, oba ka ŋŋambe nti nga mumaze okumanyibwa Katonda, muyinza mutya okudda ku bintu ebyo ebinafu omutali kantu, bye mwagala okuttukiza mubeere baddu baabyo?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye kaakano mutegedde Katonda era naye abategedde, kale muyinza mutya okukyuka, ne mugoberera obulombolombo obunafu obutalina maanyi ne mwagala okufuuka abaddu baabwo?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye kaakano bwe mutegedde Katonda, oba ekisinga bwe mutegeddwa Katonda, mukyuka mutya okudda emabega okugoberera emyoyo eminafu egisabiriza, ate era mweteeke mu buddu bwagyo?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye kaakano nga bwe mumanyi Katonda, oba ka ŋŋambe nti nga bwe mumanyiddwa Katonda, muyinza mutya okuddayo emabega eri obuyinza bw'emisambwa eminafu era egitagasa? Era mwagala giddemu okubafuga?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye kaakano bwe mutegedde Katonda, oba ekisinga bwe mutegeddwa Katonda, mukyuka mutya ennyuma mu bigambo eby'olubereberye ebitalina maanyi ebinafu, ate bye mwagala okufugibwa omulundi ogw'okubiri?