Galatians 5:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Neesiga Mukama nga temujja kugoberera ndowooza ndala; oyo abatabula, ne bw'anaaba ani, gulimusinga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mbeesiga mu Mukama waffe nga temujja kulowooza kintu kirala kyonna. Naye oyo abateganya alisalirwa omusango ne bw’aliba ani.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mbeesiga mmwe mu Mukama waffe, nti temulirowooza kigambo kirala: naye oyo abateganya alibaako omusango gwe, ne bw'aliba ani.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye neesiga Mukama nti mujja kulowooza nga nze, era nti oyo abateganya ne bw'aba ani, alibonerezebwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mbeesiga mmwe mu Mukama waffe, nti temulirowooza kigambo kirala: naye oyo abateganya alibaako omusango gwe, ne bw'aliba ani.