Galatians 5:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno, abooluganda, oba nze nkyayigiriza okutayirirwa, lwaki bakyanjigganya? Bwe guba gutyo, n'ekyesittazo ky'omusaalaba kiggiddwawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye nze abooluganda, oba nga nkyayigiriza okukomolebwa, lwaki njigganyizibwa? Kale enkonge ey’omusaalaba evuddewo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye nze, ab'oluganda, oba nga nkyayigiriza okukomolebwa, kiki ekikyanjigganyisa? Kale enkonge ey'omusalaba ng'evuddewo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye nze, abooluganda, oba nga nkyayigiriza abantu nti okukomolebwa kwetaagibwa, lwaki nkyayigganyizibwa? Singa ddala njigiriza ekyo, olwo omusaalaba guba tegukyali kyesittazo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye nze, ab'oluganda, oba nga nkyayigiriza okukomolebwa, kiki ekikyanjigganyisa? kale enkonge ey'omusalaba ng'evuddewo.