Galatians 5:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abooluganda, mmwe mwayitirwa ddembe; kyokka eddembe eryo temulyeyambisa kukola bya mubiri, naye buli omu abeere muweereza wa munne mu kwagala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga mmwe abooluganda mwayitibwa lwa ddembe, noolwekyo eddembe teribawa bbeetu kugoberera bya mubiri. Naye olw’okwagala buli omu abeerenga muweereza wa munne.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga mmwe, ab'oluganda, mwayitibwa lwa ddembe; naye temukozesa ddembe lyammwe, kukola omubiri bye gwagala, naye olw'okwagala muweerezaganenga mwekka na mwekka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abooluganda, mmwe mwayitibwa kuba ba ddembe. Kyokka muleme kufugibwa kwegomba kwa mubiri, nga mwesiga eddembe eryo, wabula mwagalanenga, era buli omu abeerenga muweereza wa munne.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga mmwe, ab'oluganda, mwayitibwa lwa ddembe; naye eddembe lyammwe liremenga okubeera omubiri kwe guyima, naye olw'okwagala muweerezaganenga mwekka na mwekka.