Galatians 5:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
obuggya, obutemu, obutamiivu, ebiduula n'ebirala ebiringa ebyo. Mbalabula, era nga bwe nabalabula olulala, ebyo ababikola tebalisikira bwakabaka bwa Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ettima, obutamiivu, ebinyumu, n’ebirala ebiri ng’ebyo. Ka mbategeeze nate nga bwe nasooka okubabuulira nti buli akola ebyo talina mugabo mu bwakabaka bwa Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ettima, obutamiivu, ebinyumu, n'ebiri ng'ebyo: mbalabula nga bwenasooka okubalabula nti abo abakola ebyo tebalisikira bwakabaka bwa Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ettima, obutamiivu, ebinyumu, n'ebirala ebiri ng'ebyo. Ne kaakano nnyongera okubalabula, nga bwe nabalabula okusooka, nti abo abakola ebifaanana ng'ebyo, tebaliba na mugabo mu Bwakabaka bwa Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ettima, obutamiivu, ebinyumu, n'ebiri ng'ebyo: nsooka okubabuulira ku ebyo, nga bye nnasooka okubabuulira, nti bali abakola ebiri ng'ebyo tebalisikira bwakabaka bwa Katonda.