Galatians 5:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tuleke kwegomba kitiibwa kitaliimu n'okusosonkerezagana, n'okukwatiragana obuggya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tulemenga okwemanya, n’okunyizaganya, n’okukwatiragananga obuggya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tuleme okwenyumiririzanga obwereere, nga twesunguwaza fekka na fekka, nga tetukwatibwa buggya fekka na fekka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tulemenga okwenyumiriza, wadde buli omu okusosonkereza munne, n'okumukwatirwa obuggya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tuleme okwenyumiririzanga obwereere, nga twesunguwaza fekka na fekka, nga tukwatibwa obuggya fekka na fekka.