Galatians 5:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nziramu okukakasa buli muntu eyeewaayo okutayirirwa, nti oyo abanjibwa okukwata Etteeka lyonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era nziramu okutegeeza buli muntu akomolebwa nti alina ebbanja okutuukiriza amateeka gonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era nate ntegeeza buli muntu akomolebwa nti alina ebbanja ery'okukolanga eby'amateeka byonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era ntegeeza buli muntu akomolebwa nti ateekwa okutuukiriza ebyo byonna Amateeka bye galagira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nate ntegeeza buli muntu akomolebwa nti alina ebbanja ery'okukolanga eby'amateeka byotuna.