Galatians 5:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti mu Kristu Yezu okutayirirwa n'obutatayirirwa byombi tebirina makulu, wabula okukkiriza okweyolekera mu kwagala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga mu Kristo Yesu, okukomolebwa oba obutakomolebwa, tekulina maanyi, wabula okukkiriza kukola olw’okwagala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga mu Kristo Yesu okukomolebwa newakubadde obutakomolebwa, tekulina maanyi, wabula okukkiriza okukola olw'okwagala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe tuba nga twegasse ne Kristo Yesu, okukomolebwa oba obutakomolebwa, tekiriiko kye kifuula. Ekikulu kwe kukkiriza, okukolera mu kwagala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga mu Kristo Yesu okukomolebwa tekulina maanyi newakubadde obutakomolebwa, wabula okukkiriza okukola olw'okwagala.