Galatians 6:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abooluganda, ng'omuntu akwatiddwa n'agwa mu nsobi, mmwe aba Mwoyo mumugolole n'eggonjebwa. Nammwe mwegendereze muleme kukemebwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abooluganda omuntu bw’abanga alina ekibi ky’akoze, mmwe ab’omwoyo mumuluŋŋamyenga mu buwombeefu nga mwegendereza si kulwa nga nammwe mugwa mu kukemebwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ab'oluganda, omuntu bw'abanga alina ekibi ky'akoze, mmwe ab'omwoyo mumuluŋŋamyenga mu mwoyo gw'obuwombeefu; nga mwegendereza si kulwa nga nammwe mugwa mu kukemebwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abooluganda, bwe wabangawo agudde mu kibi, mmwe abafugibwa omwoyo, muyambenga omuntu oyo nga muli bakkakkamu. Mwekuumenga, sikulwa nga nammwe mugwa mu kukemebwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ab'oluganda, omuntu bw'alabibwanga ng'ayonoonye; mmwe ab'omwoyo mumulongoosenga ali bw'atyo mu mwoyo gw'obuwombeefu; nga weekuuma wekka naawe olemenga okukemebwa.