Galatians 6:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kikafuuwe nze okwetenda, wabula beppo mu musaalaba gwa Mukama waffe Yezu Kristu; mu gwo ensi ekomereddwa ku nze, nange nga nkomereddwa ku yo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye nze sigenda kwenyumiririza mu kintu kyonna okuggyako omusaalaba gwa Mukama waffe Yesu Kristo, kubanga olw’omusaalaba ogwo, nkomereddwa eri ensi, n’ensi ekomereddwa eri nze.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye nze ssaagala kwenyumirizanga, wabula mu musalaba gwa Mukama waffe Yesu Kristo; olw'ogwo ensi ekomereddwa gye ndi, nange eri ensi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nze sigenda kwenyumiriza n'akatono, okuggyako okwenyumiririza mu musaalaba gwa Kristo. Olw'omusaalaba ogwo, ensi ngiraba ng'ekomereddwa, nayo endaba ng'omukomerere.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye nze ssaagala kwenyumirizanga, wabula ku musalaba gwa Mukama waffe Yesu Kristo; olw'ogwo ensi ekomereddwa gye ndi, nange eri ensi.