Galatians 6:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okutayirirwa tekulina makulu, n'obutatayirirwa nabwo bwe butyo; ekikulu kwe kubeera ekitonde ekiggya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga okukomolebwa oba obutakomolebwa si kintu, wabula ekikulu kye kitonde ekiggya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga okukomolebwa oba obutakomolebwa, si kye kikulu, wabula okufuuka ekitonde ekiggya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oba ng'omuntu akomolebwa oba takomolebwa, ekyo si nsonga, wabula ekyetaagibwa kwe kufuuka ekitonde ekiggya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga okukomolebwa si kintu, newakubadde obutakomolebwa, wabula ekitonde ekiggya.