Galatians 6:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'okuva kati wabulewo antawaanya, kubanga enkovu za Yezu mpita nazo ku mubiri gwange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okuva kaakano tewabanga muntu n’omu anteganya, kubanga nnina enkovu za Yesu ku mubiri gwange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okuva ne kaakano, omuntu yenna aleme okunteganya; kubanga nnina enkovu za Yesu ku mubiri gwange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okuva kaakano tewabanga muntu n'omu anteganya, kubanga enkovu ze nnina ku mubiri gwange za Yesu,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okutanula kaakano, omuntu yenna aleme okunteganyanga: kubanga ntwala enkovu za Yesu zisaliddwa ku mubiri gwange.