Galatians 6:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli omu yeekebere alabe nga bw'akola, olwo aneepima n'alaba ekimwewaanya, naye n'ateegeranya ku mulala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye buli muntu yeekebere akakase omulimu ggwe, yenyumirize ye yekka so si mu muntu omulala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye buli muntu akeberenga omulimu gwe yekka, era n'okwenyumiriza kunaabanga mu ye yekka so si mu mulala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka buli omu akeberenga ebikolwa bye, alyoke alabe oba nga mu ye mulimu ekimwenyumirizisa, nga teyeegeraageranya na mulala,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye buli muntu akemenga omulimu gwe ku bubwe; alyoke abeere n'okwenyumiriza ku bubwe yekka so si ku bwa mulala.