Genesis 1:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Katonda era n'agamba nti: “Ettaka limeze ebimera: omuddo oguleeta ensigo n'emiti egireeta ebibala ku nsi, nga gireeta ebibala omuli ensigo, buli gumu mu mbala yaagwo.” Ne kiba bwe kityo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Katonda n’agamba nti, “Ensi ereete ebimera: emiti egizaala ensigo mu ngeri yaagyo, emiti egy’ebibala ebibaamu ensigo mu ngeri yaagyo, gibeere ku nsi.” Ne kiba bwe kityo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Katonda n'ayogera nti, “Ensi emere ebimera: ebimera ebizaala ensigo, n'emiti egy'ebibala ebya buli ngeri ku nsi egizaala ebibala ebirimu ensigo.” Era ne kiba bwe kityo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era n'agamba nti: “Ensi emere ebimera ebya buli ngeri, ebeeremu omuddo ogubala ensigo, n'emiti egy'ebibala ebirimu ensigo, ng'ebika byabyo bwe biri.” Ne kiba bwe kityo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Katonda n'ayogera nti, ensi emere ebimeera, omuddo ogubala ensigo, omuti gw'ebibala, ogubala ebibala mu ngeri yaagwo, ogulimu ensigo yaagwo, ku nsi: bwe kityo bwe kyali.