Genesis 1:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ettaka ne limeza ebimera: omuddo oguleeta ensigo ey'embala yaagwo, n'emiti egibala ebibala omuli ensigo mu mbala yaagyo. Katonda n'alaba nga kirungi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ensi n’ereeta ebimera: ebimera eby’ensigo ebya buli ngeri, n’emiti egy’ebibala ebya buli ngeri n’ebijja ku nsi. Katonda n’alaba nga ky’akoze kirungi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ensi n'emera ebimera, ebimera ebizaala ensigo eza buli ngeri, n'emiti egya buli ngeri egizaala ebibala ebirimu ensigo. Katonda n'alaba nga kyali kirungi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ensi n'emera ebimera ebya buli ngeri: omuddo ogubala ensigo, ng'ebika byagwo bwe biri, ne miti egy'ebibala bwe gityo. Katonda n'alaba nga birungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ensi n'emera ebimera, omuddo ogubala ensigo mu ngeri yaagwo, n'omuti ogubala ebibala, ogulimu ensigo yaagwo, mu ngeri yaagwo: Katonda n'akiraba nga kirungi.