Genesis 1:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Katonda n'agamba nti: “Mu lubaale lw'eggulu wabeerewo ebyaka, byawule emisana n'ekiro, bibeere obubonero okutegeererwa ebiseera by'obudde, ennaku n'emyaka,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Katonda n’agamba nti, “Wabeewo ebyaka mu bbanga ly’eggulu, okwawula emisana n’ekiro; bibeerenga obubonero okwawulanga ebiro, n’ennaku, n’emyaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Katonda n'ayogera nti, “Wabeewo ebyaka mu bbanga ery'eggulu, byawulenga emisana n'ekiro, era bireteewo obubonero n'ebiro n'ennaku n'emyaka;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda n'agamba nti: “Wabeewo ebyaka mu bbanga ery'eggulu, byawulenga emisana n'ekiro, era biragenga ebiseera by'obudde, n'ennaku, n'emyaka,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Katonda n'ayogera nti, Wabeewo ebyaka mu bbanga ery'eggulu; byawulenga emisana n'ekiro, bibenga ng'obubonero, n'ebiro, n'ennaku n'emyaka: