Genesis 1:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Katonda n'agamba nti: “Amazzi gabune ebitonde ebirimu obulamu, n'ebinyonyi bibuukire ku nsi mu lubaale lw'eggulu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Katonda n’ayogera nti, “Amazzi galeete ebibinja by’ebiramu, n’ebinyonyi bibuukenga waggulu mu bbanga.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Katonda n'ayogera nti, “Amazzi gazaale ebitonde ebiramu bingi nnyo, era n'ebinyonyi bibuuke waggulu ku nsi mu bbanga.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda n'agamba nti: “Ekkuŋŋaaniro ly'amazzi lijjulemu ebiramu ebyewalula, n'ensi ebeeremu ebiramu ebibuuka mu bbanga.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Katonda n'ayogera nti, Amazzi gazaale ebyewalula bingi ebirina obulamu, era n'ebibuuka bibuuke ku nsi mu bbanga ery'eggulu.