Genesis 1:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Katonda yatonda agasota aganene n'ebiramu byonna ebibunye mu mazzi mu mbala yaabyo, na buli kinyonyi kya biwaawaatiro mu mbala yaakyo. Katonda n'alaba nga kirungi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’atyo Katonda n’akola ebitonde eby’omu nnyanja ebinene ennyo, na buli kiramu ekya buli ngeri eky’omu nnyanja, na buli kinyonyi ekibuuka. Katonda n’alaba nga ky’akoze kirungi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Katonda n'atonda balukwata abanene, na buli kitonde ekiramu ekyewalula, amazzi kye gaazaala mu ngeri zaakyo, na buli ekibuuka ekirina ebyoya mu ngeri yaakyo. Katonda n'alaba nga kyali kirungi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda n'atonda agasolo aganene ag'omu nnyanja, n'ebitonde byonna ebya buli ngeri ebibeera mu mazzi, n'ebibuuka mu bbanga. Katonda n'alaba nga birungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Katonda n'atonda balukwata abanene, na buli ekirina obulamu ekyewalula, amazzi kye gaazaala mu ngeri zaabyo, na buli ekibuuka ekirina ebyoya mu ngeri yaakyo: Katonda n'akiraba nga kirungi.