Genesis 1:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Katonda n'abiwa omukisa n'agamba nti: “Muzaale, mwale, mujjule amazzi g'ennyanja, n'ebinyonyi byeyongere obungi ku nsi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’atyo Katonda n’abiwa omukisa n’agamba nti, “Muzaale mwale, mujjuze amazzi g’ennyanja, n’ebinyonyi byale ku nsi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Katonda n'abiwa omukisa n'ayogera nti, “Mweyongere mwale, mujjuze amazzi ag'omu nnyanja, era n'ebinyonyi byeyongere mu nsi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'abiwa omukisa, n'agamba nti: “Muzaale mwale, mujjuze ennyanja. N'ebibuuka mu bbanga byale mu nsi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Katonda n'abiwa omukisa n'ayongera nti, Mweyongere mwale, mujjuze amazzi ag'omu nnyanja, era n'ebibuuka byeyongere mu nsi.