Genesis 1:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Katonda n'agamba nti: “Ettaka lireete ebiramu mu mbala yaabyo, ebisolo by'awaka, n'ebyewalula, n'ebisolo by'oku nsi mu mbala yaabyo.” Ne kiba bwe kityo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Katonda n’ayogera nti, “Ensi ereete ebiramu ebya buli ngeri: ente, n’ebyewalula, n’ensolo ez’omu nsiko eza buli ngeri.” Bwe kityo bwe kyali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Katonda n'ayogera nti, “Ensi ereete ebirina obulamu ebya buli ngeri: ente n'ebyewalula, n'ensolo ez'omu nsiko eza buli ngeri.” Era ne kiba bwe kityo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda n'agamba nti: “Ensi esibukemu ebiramu ebya buli ngeri, ensolo ezifugibwa, n'ez'omu ttale, ennene n'entono, n'ebyewalula.” Ne kiba bwe kityo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Katonda n'ayogera nti, Ensi ereete ekirina obulamu mu ngeri yaakyo, ente, n'ekyewalula, n'ensolo y'ensi mu ngeri yaayo: bwe kityo bwe kyali.