Genesis 1:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Katonda n'agamba nti: “Tukole omuntu mu kifaananyi kyaffe ne mu mbala yaffe, bafuge ebyennyanja mu nnyanja n'ebinyonyi eby'omu bbanga, ebisolo by'awaka, ssaako n'ebisolo eby'omu nsiko byonna, na buli kyewalula ku ttaka.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Katonda n’agamba nti, “Tukole omuntu mu kifaananyi kyaffe mu ngeri yaffe. Bafugenga ebyennyanja eby’omu nnyanja, n’ebinyonyi eby’omu bbanga, n’ensolo zonna, n’ensi yonna, era bafugenga na buli ekyewalulira ku nsi kyonna.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Katonda n'ayogera nti, “Tukole omuntu mu kifaananyi kyaffe, mu ngeri yaffe, afugenga eby'omu nnyanja n'ebinyonyi eby'omu bbanga, n'ente, n'ensolo ez'omu nsiko, na buli ekyewalula ku nsi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda n'agamba nti: “Tukole abantu abali nga ffe, nga batufaanana, bafugenga eby'omu nnyanja n'ebibuuka mu bbanga, n'ebyewalula ku ttaka, n'ensolo era n'ensi yonna.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Katonda n'ayogera nti, Tukole omuntu mu ngeri yaffe, mu kifaananyi kyaffe: bafugenga eby'omu nnyanja n'ebibuuka waggulu, n'ente, n'ensi yonna, na buli ekyewalula ku nsi.