Genesis 1:28 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Katonda n'abawa omukisa, n'abagamba nti: “Muzaale, mwale, mujjuze ensi mugifuge, mufuge ebyennyanja mu nnyanja, n'ebinyonyi eby'omu bbanga, n'ebiramu byonna ebyewalula ku ttaka.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Katonda n’abawa omukisa, n’abagamba nti, “Mwale mujjuze ensi, mugifugenga. Mufugenga ebyennyanja ebiri mu nnyanja, n’ebinyonyi eby’omu bbanga na buli kiramu ekitambula ku nsi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Katonda n'abawa omukisa, era Katonda n'abagamba nti, “Mweyongerenga mwalenga, mujjuze ensi mugifuge; mufugenga eby'omu nnyanja n'ebinyonyi eby'omu bbanga, na buli ekirina obulamu ekitambula ku nsi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'abawa omukisa, ng'agamba nti: “Muzaale mwale, mujjuze ensi, mugifuge. Mulabirirenga eby'omu nnyanja, n'ebibuuka mu bbanga n'ebiramu byonna ebyetawulira ku nsi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Katonda n'abawa omukisa, Katonda n'abagamba nti, Mweyongerenga, mwalenga, mujjuze ensi, mugirye: mufugenga eby'omu nnyanja, n'ebibuuka waggulu, na buli ekirina obulamu ekitambula ku nsi.