Genesis 1:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Katonda n'agamba nti: “Wuuno mbawadde omuddo gwonna oguleeta ensigo wonna ku nsi n'emiti gyonna egibala ebibala ebireeta ensigo, y'eneebanga emmere yammwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Katonda n’agamba nti, “Laba mbawadde buli kimera eky’ensigo ekiri ku nsi na buli muti ogw’ensigo mu kibala kyagwo. Munaabiryanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Katonda n'ayogera nti, “Laba, mbawadde buli kimera eky'ensigo ekiri ku nsi, na buli muti ogubala ekibala ekirimu ensigo, binaabanga mmere yammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda n'agamba nti: “Mbawadde ebimera byonna ebiri ku nsi, ebibala ensigo, era n'emiti gyonna egibala, bibeerenga emmere yammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Katonda n'ayogera nti, Laba, mbawadde omuddo gwonna ogubala ensigo, oguli ku nsi yonna, na buli muti ogulimu, ekibala ky'omuti ogubala ensigo eri mmwe; gunaabanga mmere.