Genesis 1:30 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'ebisolo byonna eby'oku nsi n'ebinyonyi byonna eby'omu bbanga na buli kyewalula ku ttaka ekirina obulamu; mbiwadde buli kimera kyonna y'eba ebeera emmere.” Ne kiba bwe kityo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mbawadde na buli nsolo ey’oku nsi, na buli kinyonyi eky’omu bbanga na buli ekyewalula, na buli ekissa omukka mbiwa buli kimera, okuba emmere yaabyo.” Bwe kityo bwe kyali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'eri buli nsolo ey'oku nsi, na buli kinyonyi eky'omu bbanga, na buli ekyewalula ku nsi, ekirimu omukka omulamu, mbiwadde buli kimera okuba emmere.” Era ne kiba bwe kityo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ensolo zonna n'ennyonyi nziwadde omuddo n'amakoola, bibeerenga emmere yaabyo.” Ne kiba bwe kityo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'eri buli ensolo ey'oku nsi, na buli ekibuuka waggulu, na buli ekyewalula ku nsi, ekirimu omukka omulamu, ngiwadde omuddo gwonna omubisi okubeeranga emmere: bwe kityo bwe kyali.