Genesis 1:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Katonda n'alaba byonna bye yali akoze nga wamma birungi nnyo. Ne buwungeera, ne bukya; lwe lunaku olwomukaaga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Katonda n’alaba byonna by’akoze nga birungi nnyo. Ne buba akawungeezi, ate ne buba enkya, olwo lwe lunaku olwomukaaga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Katonda n'alaba buli kye yali akoze; era, laba, nga kyali kirungi nnyo. Ne buba akawungeezi, ne buba enkya, olwo lwe lunaku olwomukaaga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda n'atunula ku buli ky'akoze, n'alaba nga kirungi nnyo. Ne buziba, ne bukya. Olwo lwe lunaku olw'omukaaga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Katonda n'alaba buli ky'akoze; era, laba, nga kirungi. Ne buba akawungeezi ne buba enkya, olwo lwe lunaku olw'omukaaga.