Genesis 1:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekitangaala n'akiyita misana, ate enzikiza n'agiyita kiro. Ne buwungeera, ne bukya; lwe lunaku olubereberye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Katonda obutangaavu n’abuyita emisana, n’ekizikiza n’akiyita ekiro. Ne wabaawo akawungeezi ate ne buba enkya. Olwo lwe lunaku olw’olubereberye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Katonda ekitangaala n'akiyita emisana, n'ekizikiza n'akiyita ekiro. Ne buba akawungeezi, ne buba enkya, olwo lwe lunaku olwolubereberye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekitangaala n'akiyita “Emisana,” ate ekizikiza n'akiyita “Ekiro.” Ne buziba, ne bukya. Olwo lwe lunaku olubereberye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Katonda obutangaavu n'abuyita emisana, n'ekizikiza n'akiyita ekiro. Nebuba akawungeezi, ne buba enkya, olwo lwe lunaku olumu.