Genesis 1:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Katonda n'agamba nti: “Amazzi agali wansi w'eggulu gakuŋŋaanire mu kifo kimu n'olukalu lulabike.” Ne kiba bwe kityo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Katonda n’ayogera nti, “Amazzi agali wansi w’eggulu gakuŋŋaanire mu kifo kimu, wabeewo olukalu.” Ne kiba bwe kityo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Katonda n'ayogera nti, “Amazzi agali wansi w'eggulu gakuŋŋaanire mu kifo kimu, olukalu lulabike.” Era ne kiba bwe kityo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda n'agamba nti: “Amazzi agali wansi w'eggulu, gakuŋŋaanire mu kifo kimu, olukalu lulabike.” Ne kiba bwe kityo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Katonda n'ayogera nti, Amazzi agali wansi w'ggulu gakuŋŋaanire mu kifo kimu, olukalu lulabike: bwe kityo bwe kyali.