Genesis 10:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ensalo z'Abakanaani zaavanga ku Sidoni, Gerari ne zeeyongerayo e Gaza ne zituuka e Sodoma n'e Gomorra ne Aduma ne Zeboyimu okutuuka e Lasa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekitundu kya Kanani kyava ku Sidoni, okwolekera Gerali n’okutuukira ddala e Gaza okwolekera Sodomu, ne Ggomola, ne Adima, ne Zeboyimu okutuukira ddala e Lasa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ensalo z'ensi y'Abakanani yava e Zidoni okwolekera Gerali, okutuuka e Gaza; era n'etuuka n'e Lasa, okwolekera Sodoma ne Ggomola, Aduma ne Zeboyimu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ensalo z'ensi yaabwe ne ziva e Sidoni okwolekera Gerari, okumpi ne Gaaza, ne zituuka e Sodoma ne Gomora, ne Aduma, ne Beboyimu, okumpi ne Lasa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ensalo ey'Omukanani yava mu Zidoni, ng'ogenda e Gerali, n'etuuka ku Gaza; era yatuuka ku Lasa, ng'ogenda e Sodoma ne Ggomola ne Aduma ne Zeboyimu.