Genesis 10:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Seemu, muganda wa Yafesi omukulu, naye n'azaala omulenzi nga ye jjajja w'abazzukulu ba Eberi bonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Seemu kitaawe w’abo bonna abaava mu Eberi, mukulu wa Yafeesi naye yazaalirwa abaana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne Seemu, mukulu wa Yafeesi, era jjajja w'abaana ba Eberi, n'azaala abaana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne Seemu mukulu wa Yafeeti, era jjajja w'abaana ba Eberi, n'azaala abaana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ne Seemu, jjajja w'abaana bonna aba Eberi, muganda wa Yafeesi omukulu, naye n'azaalirwa abaana.