Genesis 10:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eberi yazaalirwa abaana ab'obulenzi babiri: omu ng'ayitibwa Pelegi kubanga mu budde bwe ensi we yagabanyizibwamu ebitundu; ne muganda we erinnya lye Yokutani.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omu ku batabani ba Eberi yali Peregi, kubanga we yazaalirwa ensi yali yeesazeemu, muganda we ye yali Yokutaani.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eberi yalina abaana babiri, omu nga ye Peregi, kubanga mu mulembe gwe ensi mwe zaayawulibwamu, omulala nga ye Yokutaani.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eberi yalina abaana babiri, omu nga ye Pelegi, kubanga mu mulembe gwe ensi mwe zaayawulibwamu, omulala nga ye Yokutaani.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Eberi n'azaalirwa abaana babiri: erinnya ly'omu Peregi; kubanga mu nnaku ze ensi zonna mwe zaagabirwa; n'erinnya lya muganda we Yokutaani.