Genesis 10:32 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Gano ge mazadde g'abazzukulu ba Nowa mu mazadde gaabwe n'amawanga gaabwe. Mu bo mwe mwasibuka amawanga amalala ku nsi ng'omujjuzi guwedde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abo ze nnyumba za batabani ba Nuuwa ng’okuzaalibwa kwabwe bwe kwali, n’amawanga gaabwe; era okuva mu bano amawanga gonna mwe gaayalira ne gabuna ensi yonna oluvannyuma lw’amataba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebyo bye bika eby'abaana ba Nuuwa, ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kwali, mu mawanga gaabwe; era mu abo amawanga mwe gaava okusaasaanira mu nsi amataba nga gamaze okubaawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu abo bonna be bazzukulu ba Noowa, nga bwe bali mu bika byabwe ne mu mawanga gaabwe. Era mu abo mwe mwava amawanga ne gasaasaanira ensi, ng'omujjuzo gw'amazzi gumaze okubaawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebyo bye bika eby'abaana ba Nuuwa, ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kwali, mu mawanga gaabwe: era mu abo mwe gaava amawanga okwawulirwa mu nsi amataba nga gamaze okubaawo.