Genesis 10:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu b'oku nnyanja ne basaasaana mu bizinga okuva mu ndyo zino, buli omu n'olulimi lwe okusinziira ku bika byabwe ne mu mawanga gaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
(Mu bano mwe mwava abo abaabuna olubalama lw’ennyanja. Bano be batabani ba Yafeesi mu bitundu byabwe, buli bamu mu nnimi zaabwe ng’ennyumba zaabwe n’amawanga gaabwe bwe biri.)
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abo be baasibukamu abantu abali ku lubalama lw'ennyanja, ne ku bizinga. Abo be bazzukulu ba Yafeesi, nga bwe bali mu bika byabwe, ne mu mawanga gaabwe, era ne mu nnimi zaabwe ze boogera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abo be baasibukamu abantu abali ku lubalama lw'ennyanja, ne ku bizinga. Abo be bazzukulu ba Yafeeti, nga bwe bali mu bika byabwe, ne mu mawanga gaabwe, era ne mu nnimi zaabwe ze boogera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abo be baagabirwa ebizinga eby'amawanga mu nsi zaabwe, buli muntu ng'olulimi lwe bwe lwali; ng'ebika byabwe bwe byali, mu mawanga gaabwe.