Genesis 10:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yali muyizzi wa maanyi mu maaso g'Omukama. We waava enjogera nti: “Nga Nimurodi omuyizzi ow'amaanyi mu maaso g'Omukama.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yali muyizzi kkungwa, mu maaso ga Mukama, kyekyava kigambibwa nti, “Afaanana Nimuloodi omuyizzi kkungwa mu maaso ga Mukama.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yali muyizzi wa maanyi mu maaso ga Mukama; kye kyavanga kyogerwa nti, “Mukama akufuule muyizzi ow'amaanyi nga Nimuloodi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yayambibwa Mukama, n'aba muyizzi muzira. Abantu kyebaavanga bagamba nti: “Mukama akufuule muyizzi muzira nga Nimuroodi!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yali muyizzi wa maanyi mu maaso ga Mukama: kyekiva kyogerwa nti Nga Nimuloodi omuyizzi ow'amaanyi mu maaso ga Mukama.