Genesis 11:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Gano ge mazadde ga Seemu: Seemu yali aweza emyaka kikumi n'azaala Arupakusadi nga waakayita emyaka ebiri okuva ku mujjuzi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bino bye bifa ku b’olulyo lwa Seemu: Seemu bwe yali ng’aweza emyaka kikumi, n’azaala Alupakusaadi nga wakayita emyaka ebiri okuva ku mataba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kuno kwe kuzaala kwa Seemu. Seemu bwe yaweza emyaka kikumi (100), amataba nga gamaze emyaka ebiri (2) okubaawo, n'azaala Alupakusaadi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bano be bazzukulu ba Seemu. Seemu bwe yaweza emyaka kikumi, n'azaala Arupakusaadi, nga wayiseewo emyaka ebiri okuva ku mujjuzo gw'amazzi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kuno kwe kuzaala kwa Seemu. Seemu yali yaakamaze emyaka kikumi, n'azaala Alupakusaadi amataba nga gaakamaze emyaka ebiri okubaawo: