Genesis 11:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sela bwe yamala okuzaala Eberi yawangaalayo emyaka emirala ebikumi bina mu esatu; yaazaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ate Seera n’aweza emyaka emirala ebikumi bina mu asatu ng’amaze okuzaala Eberi, era omwo n’azaaliramu abaana abalala aboobulenzi n’aboobuwala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Seera bwe yamala okuzaala Eberi, n'awangaala emyaka emirala bina mu esatu (403), era mwe yazaalira abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe yamala okuzaala Eberi, n'awangaala emyaka ebikumi bina mu esatu, n'azaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Seera n'awangaala bwe yamala okuzaala Eberi emyaka bina mu esatu, n'azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala.